Job 14

1 a“Omuntu azaalibwa omukazi,
abeera ku nsi akaseera katono era abeera mu kutegana.
2 bAmulisa ng’ekimuli n’awotoka;
abulawo mangu ng’ekisiikirize, tabeerera.
3 cOtunuulira omuntu afaanana bw’atyo?
Olimuleeta gy’oli asalirwe omusango?
4 dAni ayinza okuggya ekirongoofu mu kitali kirongoofu?
Tewali n’omu!
5 eEnnaku z’omuntu zaagererwa,
wagera obungi bw’emyezi gye
era n’oteekawo ekkomo ly’atasobola kusukka.
6 fKale tomufaako muleke yekka,
okutuusa lw’alimala okutuukiriza emirimu gye ng’omupakasi.

7“Wakiri waliwo essuubi ng’omuti guloka:
Bwe gutemebwa, guloka nate,
era ekikolo kyagwo ekiggya tekifa.
8Emirandira gyagwo gyandikaddiyidde mu ttaka
era n’ekikonge ne kifiira mu ttaka,
9naye olw’emirandira okutambula ne ginoonya amazzi kimulisa
ne kireeta amatabi ng’ekisimbe.
10 gNaye omuntu afa era n’agalamizibwa,
assa ogw’enkomerero n’akoma.
11 hNg’amazzi bwe gaggwa mu nnyanja
oba omugga bwe gukalira ne guggwaawo,
12 ibw’atyo omuntu bw’agalamira,
era n’atasituka okutuusa eggulu bwe linaggwaawo,
abantu tebajja kuzuukuka oba kuggyibwa mu tulo twabwe.

13 j“Singa kale onkweka emagombe
era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo!
Singa ongerera ekiseera
n’onzijukira!
14Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?
Ennaku zange zonna ez’okuweereza
nnaalindanga okuwona kwange kujje.
15 kOlimpita nange ndikuyitaba;
olyegomba ekitonde emikono gyo kye gyatonda.
16 lDdala ku olwo bw’olibala ebigere byange,
naye tolyekaliriza bibi byange.
17 mEbisobyo byange biriba bisibiddwa mu kisawo;
olibikka ku kibi kyange.

18“Naye ng’olusozi bwe luseebengerera ne luggwaawo,
era ng’ejjinja bwe liva mu kifo kyalyo,
19 nng’amazzi bwe gaggwereeza amayinja
era ng’okwanjaala kwago bwe kutwala ettaka ly’oku nsi;
bw’atyo bw’azikiriza essuubi ly’omuntu.
20Omumalamu amaanyi omuwangula lumu n’aggweerawo ddala;
okyusa enfaanana ye n’omugoba.
21 oAbaana be bwe bafuna ekitiibwa, takimanya,
bwe bagwa, takiraba.
22Obulamu bw’omubiri gwe bwokka bw’awulira
ne yeekungubagira yekka.”
Copyright information for LugEEEE